Online Bible

- Advertisements -




Et 5:22 - Luganda Bible 2003

22 “Ebyo bye biragiro Mukama bye yabawa mwenna nga mukuŋŋaanidde ku lusozi. Yabibagamba mu ddoboozi ery'omwanguka ng'asinziira mu muliro wakati ne mu kire, mu kizikiza ekikutte, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja, n'abimpa.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

22 “Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'abimpa.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

22 Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi w’olusozi Sinaayi, ng’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka eryava mu muliro, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bw’atyo n’agawandiika ku bipande bibiri eby’amayinja, n’abinkwasa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

22 Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene: n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'agampa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

22 “Bino ebigambo Omukama bye yalangirira gye muli mu ddoboozi ekkalangufu nga mukuŋŋaanye ku lusozi, ng'ayima mu muliro wakati mu kire ne mu nzikiza ekutte; tewali kye yayongerako. Yabiwandiika ku mpande bbiri ez'amayinja, n'abimpa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

22 “Ebyo bye biragiro Mukama bye yabawa mwenna nga mukuŋŋaanidde ku lusozi. Yabibagamba mu ddoboozi ery'omwanguka ng'asinziira mu muliro wakati ne mu kire, mu kizikiza ekikutte, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja, n'abimpa.

See the chapter Copy




Et 5:22

Follow us:

Advertisements


Advertisements