Et 5:15 - Luganda Bible 200315 Mujjukirenga nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, nze Mukama Katonda wammwe ne mbaggyayo, nga nkozesa obuyinza obungi n'amaanyi. Kyenva mbalagira okukuumanga olunaku olw'Okuwummula. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI15 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa Ssabbiiti.’ ” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya15 Ojjukiranga nga wali muweereza mu nsi ey’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyayo n’omukono gwe omuwanvu era ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okuumenga olunaku olwa Ssabbiiti. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya15 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa: Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa ssabbiiti. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU15 Jjukira nga naawe wali muddu mu Misiri, Omukama Katonda n'akuggyayo n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole. Omukama Katonda wo kyeyava akulagira otukuzenga olunaku lwa Sabbaato. See the chapterLuganda DC Bible 200315 Mujjukirenga nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, nze Mukama Katonda wammwe ne mbaggyayo, nga nkozesa obuyinza obungi n'amaanyi. Kyenva mbalagira okukuumanga olunaku olw'Okuwummula. See the chapter |