Et 5:14 - Luganda Bible 200314 Naye olunaku olw'omusanvu lwa kuwummula. Luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama Katonda wammwe. Temuulukolerengako mulimu na gumu, mmwe mwennyini wadde batabani bammwe ne bawala bammwe, wadde abaddu bammwe, wadde abazaana bammwe, ente zammwe, endogoyi zammwe n'ebisolo byammwe ebirala, wadde abagwira abali awaka wammwe. Abaddu bammwe n'abazaana bammwe nabo bawummulenga nga mmwe. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI14 naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe, newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga nga ggwe. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya14 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, oba ente yo eya sseddume, oba endogoyi yo, oba ku nte zo endala zonna, oba omugenyi ali omumwo, abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, nabo balyoke bawummuleko nga ggwe. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya14 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga wo ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga era nga naawe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU14 Naye olunaku olwomusanvu ye Sabbaato ku lw'Omukama Katonda wo. Tokolanga mulimu ku olwo, ggwe, newandibadde mutabani wo, newandibadde muwala wo, newandibadde abaddu bo abasajja n'abakazi, oba ente yo, oba endogoyi yo na buli kisolo kyo, omugwira ali naawe mu kibuga kyo; omuddu wo n'omuzaana nabo bawummuleko nga ggwe bw'okola. See the chapterLuganda DC Bible 200314 Naye olunaku olw'omusanvu lwa kuwummula. Luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama Katonda wammwe. Temuulukolerengako mulimu na gumu, mmwe mwennyini wadde batabani bammwe ne bawala bammwe, wadde abaddu bammwe, wadde abazaana bammwe, ente zammwe, endogoyi zammwe n'ebisolo byammwe ebirala, wadde abagwira abali awaka wammwe. Abaddu bammwe n'abazaana bammwe nabo bawummulenga nga mmwe. See the chapter |