Et 4:40 - Luganda Bible 200340 Mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'abaana bammwe abaliddawo, era muwangaalire mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa ebe yammwe ennaku zonna.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI40 Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero olyoke olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era owangaale nnyo ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa emirembe gyonna.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya40 Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya40 Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero, olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era omale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa, emirembe gyonna. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU40 Kwata amateeka ge n'ebiragiro bye bye nkuwa olwa leero, olyoke obeerenga bulungi n'abaana bo abalikuddirira, obeere mu nsi ebbanga ggwanvu, ensi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa emirembe gyonna.” See the chapterLuganda DC Bible 200340 Mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'abaana bammwe abaliddawo, era muwangaalire mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa ebe yammwe ennaku zonna.” See the chapter |