Et 4:34 - Luganda Bible 200334 Oba waliwo lubaale eyali agezezzaako okugenda okwetwalira abantu b'eggwanga erimu ng'abaggya wakati mu ggwanga eddala, ng'akozesa ebigezo, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'olutalo, n'obuyinza obungi n'amaanyi, n'eby'entiisa ennene, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakolera mmwe e Misiri nga mulaba? See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI34 Waliwo Katonda yenna eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga eddala ng'akozesa obubonero, eby'amagero, entalo, n'engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa, n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera e Misiri nga mulaba? See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya34 Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula? See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya34 Oba Katonda yali agezezzaako okugenda okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga linnaalyo, n'okukema n'obubonero n'eby'amagero n'entalo n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe? See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU34 Oba waali wabaddewo lubaale agenda ne yeggyirayo eggwanga okuva mu ggwanga eddala nga yeeyamba ebigezo, n'obubonero, n'ebikuuno, n'entalo, n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole, n'ebikolwa eby'entiisa, ng'ebyo Omukama Katonda wammwe bye yakola mu Misiri nga naawe olaba? See the chapterLuganda DC Bible 200334 Oba waliwo lubaale eyali agezezzaako okugenda okwetwalira abantu b'eggwanga erimu ng'abaggya wakati mu ggwanga eddala, ng'akozesa ebigezo, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'olutalo, n'obuyinza obungi n'amaanyi, n'eby'entiisa ennene, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakolera mmwe e Misiri nga mulaba? See the chapter |