Online Bible

- Advertisements -




Et 4:10 - Luganda Bible 2003

10 olunaku lwe mwayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ku lusozi Horebu, lwe yaŋŋamba nti: ‘Nkuŋŋaanyiza abantu. Njagala bawulire bye mbagamba, bayige okuntyanga ennaku zonna ez'obulamu bwabwe ku nsi, era ekyo bakiyigirizenga n'abaana baabwe.’

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

10 olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo wansi w'olusozi Kolebu; Mukama bwe yaŋŋamba nti, ‘Nkuŋŋaanyiza abantu, mbategeeze ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaamalanga nga balamu ku nsi, era bayigirizenga n'abaana baabwe.’

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

10 Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

10 olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo ku Kolebu, Mukama bwe yaŋŋamba nti Nkuŋŋanyiza abantu, nange naabawuliza ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaabanga abalamu ku nsi, era bayigirizenga abaana baabwe.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

10 Jjukira olunaku lwe wayimirira mu maaso g'Omukama Katonda wo ku Korebu, Omukama lwe yaŋŋamba nti: ‘Kuŋŋaanyiza we ndi abantu, bawulire ebigambo byange, bayige okuntya obudde bwonna bwe banaamala mu nsi, babiyigirize n'abaana baabwe.’

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

10 olunaku lwe mwayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ku lusozi Horebu, lwe yaŋŋamba nti: ‘Nkuŋŋaanyiza abantu. Njagala bawulire bye mbagamba, bayige okuntyanga ennaku zonna ez'obulamu bwabwe ku nsi, era ekyo bakiyigirizenga n'abaana baabwe.’

See the chapter Copy




Et 4:10

Follow us:

Advertisements


Advertisements