Online Bible

- Advertisements -




Et 21:8 - Luganda Bible 2003

8 Ayi Mukama, kwatirwa ekisa abantu bo Abayisirayeli be wanunula, oleme kubateekako musango gwa kutemula muntu ataliiko musango.’

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

8 Kale nno ayi Mukama, sonyiwa abantu bo Isiraeri, bewanunula, so tobassaako musango olw'omuntu eyattirwa obwereere. Kale omusango gunaabagibwangako.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

8 Osonyiwe abantu bo, Isirayiri, be wanunula Ayi Mukama Katonda, oleme kuleka wakati mu bantu bo, Isirayiri, omusango ogw’okuyiwa omusaayi, gwe batazzanga.” Bwe batyo banaasonyiyibwanga omusango gw’omusaayi ogwo.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

8 Sonyiwa, ai Mukama, abantu bo Isiraeri, be wanunula, so toganya musaayi ogutaliiko musango okuba wakati mu bantu bo Isiraeri. Kale omusaayi gunaabasonyiyibwanga.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

8 Mukama, kkiriza okuddaabiriza kw'abantu bo Yisirayeli be wanunula; omusaayi ogutaliiko musango togusiba ku bantu bo Yisirayeli.’ Olwo ogw'okuyiwa omusaayi gulibasonyiyibwa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

8 Ayi Mukama, kwatirwa ekisa abantu bo Abayisirayeli be wanunula, oleme kubateekako musango gwa kutemula muntu ataliiko musango.’

See the chapter Copy




Et 21:8

Follow us:

Advertisements


Advertisements