Et 21:5 - Luganda Bible 20035 Ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi banajjanga, kubanga abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, era be basalawo ensonga z'abakaayana, n'abalwanaganye. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI5 Ne bakabona ab'omu kika kya Leevi, abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, n'okutawulula abakaayana, n'abalwanaganye, banajjanga ne babawoleza. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya5 Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya5 awo bakabona abaana ba Leevi banaasemberanga; kubanga abo Mukama Katonda wo be yeeroboza okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lya Mukama; era ng'ekigambo kyabwe bwe kinaabanga, bwe zityo buli mpaka na buli kulumbagana bwe binaamalibwanga: See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU5 Awo bakabona basemberanga, bazzukulu ba Leevi, Omukama Katonda wo be yalonda bamuweereze, bawe n'omukisa mu linnya lye n'okumala ensonga zonna ez'okusoowaagana n'okulwana. See the chapterLuganda DC Bible 20035 Ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi banajjanga, kubanga abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, era be basalawo ensonga z'abakaayana, n'abalwanaganye. See the chapter |