Online Bible

- Advertisements -




Et 20:20 - Luganda Bible 2003

20 Emiti egyo gyokka gye mumanyi nga tegiriibwako bibala, gye munaayinzanga okuzikiriza ne mugitemaatema okugizimbisa bye mwetaaga mu kulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

20 Emiti egyo gyokka egitaliibwako bibala, gye munaatemanga olw'okuzimbisa bye mwetaaga okulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

20 Naye emiti gy’omanyi nga si gya bibala, egyo onoogitemanga olyoke ogikozesenga okuzimba ekisenge kw’onoosinziiranga okulwananga n’ekibuga ky’onoobanga ozingizza, okutuusa lwe kinaagwanga.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

20 Emiti egyo gyokka gy'omanyi nga si miti gya kulyako, gy'onoozikirizanga gy'onootemanga; era onoozimbiranga ebigo ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lwe kirigwa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

20 Kyokka emiti gy'omanyi nti si gya bibala, oyinza okugitema n'ogyeyambisa mu by'okuzingiza ekibuga ekiba kibalwanyisa okutuusa lwe kigwa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

20 Emiti egyo gyokka gye mumanyi nga tegiriibwako bibala, gye munaayinzanga okuzikiriza ne mugitemaatema okugizimbisa bye mwetaaga mu kulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga.

See the chapter Copy




Et 20:20

Follow us:

Advertisements


Advertisements