Online Bible

- Advertisements -




Et 20:19 - Luganda Bible 2003

19 “Bwe munaamalanga ebbanga eggwanvu nga muzingizizza ekibuga nga mukirwanyisa okukiwamba, temuuzikirizenga miti gyakyo nga mugigalulira embazzi, kubanga muyinza okugiryako ebibala. N'olwekyo temuugitemenga. Kale omuti ogw'omu nnimiro oba ogw'omu ttale, muntu nti muguzingize?

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

19 Bwe munaazingizanga ekibuga okumala ennaku ennyingi nga mulwana nakyo okukinyaga, temutemanga miti gya bibala, kubanga muyinza okugiryako, gyo si be balabe bammwe.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

19 Bw’onoozingizanga ekibuga, ng’olwana nakyo, okumala ebbanga eddene olyoke okiwangule, toddiranga mbazzi n’ozikiriza emiti gyakyo gyonna, kubanga ojjanga kwetaaga okulyanga ku bibala byagyo. Togitemanga. Emiti egy’omu nnimiro nagyo bantu olyoke ogizingize?

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

19 Bw'onoomalanga ebiro bingi ng'ozingizza ekibuga, ng'olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng'ogigalulira embazzi; kubanga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw'omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo?

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

19 “Bw'omalanga ebbanga eggwanvu ng'ozingizza ekibuga okirwanyise okiwambe, emiti gyakyo togizikirizanga togissangako mbazzi ogiteme, kubanga okyasobola okulyako ebibala. Togitemanga. Abaffe, emiti egiri mu nnimiro nagyo bantu nti olyoke ogizinde?

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

19 “Bwe munaamalanga ebbanga eggwanvu nga muzingizizza ekibuga nga mukirwanyisa okukiwamba, temuuzikirizenga miti gyakyo nga mugigalulira embazzi, kubanga muyinza okugiryako ebibala. N'olwekyo temuugitemenga. Kale omuti ogw'omu nnimiro oba ogw'omu ttale, muntu nti muguzingize?

See the chapter Copy




Et 20:19

Follow us:

Advertisements


Advertisements