Online Bible

- Advertisements -




Et 20:14 - Luganda Bible 2003

14 Naye muneetwaliranga abakazi n'abaana abato, n'amagana, na buli kintu ekinaabanga mu kibuga ekyo. Era munaakozesanga eby'omunyago byonna bye muggye ku balabe bammwe. Ebyo Mukama Katonda wammwe anaabanga abibawadde.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

14 Naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, binaabanga munyago gwammwe, munaabyetwaliranga ne mubikozesa, kubanga Mukama Katonda wammwe abibawadde.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

14 Kyokka abakazi n’abaana abato, n’ebisibo by’ensolo, n’ebintu byonna ebinaabanga mu kibuga omwo, onoobyetwaliranga ng’omunyago gwo. Era onookozesanga nga bw’onooyagalanga omunyago gwonna ogunaavanga mu balabe bo Mukama Katonda wo gw’anaabanga akuwadde.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

14 naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw'abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

14 Bo abakazi n'abaana, ebisolo by'awaka n'ebirala ebiri mu kibuga, obyetwaliranga ng'omunyago gwo. Weeriiranga ku by'onyaze mu balabe bo, Omukama Katonda wo by'akuwadde.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

14 Naye muneetwaliranga abakazi n'abaana abato, n'amagana, na buli kintu ekinaabanga mu kibuga ekyo. Era munaakozesanga eby'omunyago byonna bye muggye ku balabe bammwe. Ebyo Mukama Katonda wammwe anaabanga abibawadde.

See the chapter Copy




Et 20:14

Follow us:

Advertisements


Advertisements