Online Bible

- Advertisements -




Et 2:29 - Luganda Bible 2003

29 okutuuka lwe tunaasomoka Omugga Yorudaani ne tuyingira mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa. Tukkirize, nga bazzukulu ba Esawu ababeera ku Seyiri n'Abamowaabu ababeera mu Ari, bwe baatukkiriza okuyita mu nsi yaabwe.’

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

29 ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe banzikiriza; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani ne ŋŋenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.’ ”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

29 nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gy’ategese okutuwa.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

29 ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe bankola; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani okugenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

29 ng'abazzukulu ba Ezawu ababeera e Seyiri bwe bankola, ko n'Abamowabu abali mu Ari, okutuusa lwe nnaatuuka ku Yorudani, nsomoke, ndage mu nsi Omukama Katonda waffe gy'anaatuwa.’

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

29 okutuuka lwe tunaasomoka Omugga Yorudaani ne tuyingira mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa. Tukkirize, nga bazzukulu ba Esawu ababeera ku Seyiri n'Abamowaabu ababeera mu Ari, bwe baatukkiriza okuyita mu nsi yaabwe.’

See the chapter Copy




Et 2:29

Follow us:

Advertisements


Advertisements