Online Bible

- Advertisements -




Et 2:14 - Luganda Bible 2003

14 Okuva lwe twava e Kadesi Baruneya, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Abasajja abaserikale bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

14 Okuva lwe twava e Kadesubanea, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka asatu mu munaana (38). Abasajja abalwanyi bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

14 Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

14 Era ennaku ze twamala kasookedde tuva e Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi zaali emyaka amakumi asatu mu munaana; okutuusa emirembe gyonna egy'abalwanyi lwe baggweerawo wakati mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

14 Okusomoka Ekiwonvu Zeredi nga wayise emyaka asatu mu munaana okuva lwe twava e Kadesi-Baruneya okutuusa ng'ezzadde lyonna ery'abatabaazi lifudde liwedde mu lusiisira, ng'Omukama bwe yali abalayiridde.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

14 Okuva lwe twava e Kadesi Baruneya, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Abasajja abaserikale bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.

See the chapter Copy




Et 2:14

Follow us:

Advertisements


Advertisements