Et 19:3 - Luganda Bible 20033 Mulyerongooseza enguudo era ne musala mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba eyammwe, n'ebaamu ebitundu bisatu, buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde asobolenga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo ebisatu. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 Ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka muligigabanyamu ebitundu bisatu, buli kimu nga kirimu ekibuga eby'obuddukiro, era mulyerimira enguudo ezituuka mu bibuga ebyo. Buli atta omuntu nga tagenderedde addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 Olyelimira oluguudo, era olisala mu nsalo z'ensi yo, Mukama Katonda wo gy'akusisa, okuba ebitundu bisatu, buli atta omuntu addukirenga omwo. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU3 Okolanga enguudo ezigendayo; ensi yo yonna Omukama gy'akuwa ng'obusika, n'ogisalamu ebitundu bisatu ebyenkanankana, oli asse omuntu gy'asobola okuddukira. See the chapterLuganda DC Bible 20033 Mulyerongooseza enguudo era ne musala mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba eyammwe, n'ebaamu ebitundu bisatu, buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde asobolenga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo ebisatu. See the chapter |