Et 19:10 - Luganda Bible 200310 Mulikola bwe mutyo, sikulwa ng'abantu abataliiko musango battibwa mu nsi yammwe Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne muba n'omusango. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI10 Mulikola bwe mutyo, abantu abataliiko musango baleme kuttirwa mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, nammwe ne mubaako omusango. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya10 Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya10 omusaayi ogutaliiko musango guleme okuyiika mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, bwe kityo omusaayi ne gukubaako. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU10 Olwo omusaayi ogutaliiko musango teguliyiibwa mu nsi Omukama Katonda wo gy'alikuwa ng'obusika; oleme kuvunaanibwa gwa kuyiwa musaayi. See the chapterLuganda DC Bible 200310 Mulikola bwe mutyo, sikulwa ng'abantu abataliiko musango battibwa mu nsi yammwe Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne muba n'omusango. See the chapter |