Online Bible

- Advertisements -

Et 17:8 - Luganda Bible 2003

8 “Wanaayinzanga okubaawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe ng'egy'abakaayanira ebintu, oba egy'ebisago ebituusiddwa ku bantu, oba egy'okwawula obutemu n'okutta omuntu mu butali bugenderevu. Olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu,

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

8 Bwe wanaabangawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe, ng'egy'obussi, enkaayana z'ebintu, oba ebisago ebituusiddwa ku bantu, olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama ky'alyeroboza.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

8 Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

8 Bwe wanaabangawo ensonga ekulema okugisalira omusango, nga bavunaana omusaayi n'omusaayi, nga bavunaana ensonga n'ensonga, era nga bavunaana omuggo n'omuggo, nga bawakanira ebyo munda w'enzigi zo: kale onoogolokokanga, n'oyambuka mu kifo Mukama Katonda ky'alyeroboza;

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

8 “Singa emisango egireetebwa mu mbuga zammwe mubeerangamu ogukulemeredde okulamula, ng'egy'okuyiwa omusaayi, okusoowagana, n'okulwanagana, ogitwalanga mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

8 “Wanaayinzanga okubaawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe ng'egy'abakaayanira ebintu, oba egy'ebisago ebituusiddwa ku bantu, oba egy'okwawula obutemu n'okutta omuntu mu butali bugenderevu. Olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu,

See the chapter Copy

Et 17:8

Follow us:

Advertisements

Advertisements