Online Bible

- Advertisements -




Et 17:7 - Luganda Bible 2003

7 Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba, bwe mutyo ne mweggyako ekibi ekyo.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

7 Abajulirwa be banaasookanga okumukuba amayinja, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja okumutta; bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

7 Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

7 Omukono gw'abajulirwa gwe gunaasookanga okumubaako okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubangako. Bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi wakati wo.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

7 Mu kumutta, omukono gw'amulumiriza gwe gumusookangako, olwo n'emikono gy'abalala. Ekibi kino muteekwa okukiggyirawo ddala mu mmwe.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

7 Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba, bwe mutyo ne mweggyako ekibi ekyo.

See the chapter Copy




Et 17:7

Follow us:

Advertisements


Advertisements