Et 17:4 - Luganda Bible 20034 ne bakibabuulira ne mukiwulira, mubuulirizanga n'obwegendereza. Bwe kinaabanga eky'amazima era ekikakafu ekitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu Yisirayeli, See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI4 bwe banaababuuliranga, ne mukiwulira, munaanyiikiranga okubuuliriza, era bwe kinaabanga eky'amazima, nga tekibuusibwabuusibwa, eky'omuzizo ekyo nga kikolebwa mu Isiraeri; See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya4 ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri, See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya4 ne bakubuulira era ng'okiwulidde, n'olyoka onyiikiranga okubuuliriza, era, laba, bwe kinaabanga eky'amazima, ekigambo ne kitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekiri bwe kityo kikolerwa mu Isiraeri; See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU4 kino ne bakikubuulirako, okibuulirizangako bulungi ddala. Bwe kiba nga kituufu era nga kikakafu nti ekyenyinyalwa ekyo kyakolebwa mu Yisirayeli, See the chapterLuganda DC Bible 20034 ne bakibabuulira ne mukiwulira, mubuulirizanga n'obwegendereza. Bwe kinaabanga eky'amazima era ekikakafu ekitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu Yisirayeli, See the chapter |