Online Bible

- Advertisements -




Et 17:15 - Luganda Bible 2003

15 Mumalanga kukakasa nti muteekawo oyo Mukama gw'aliba yeerobozezza. Mussangawo omu ku b'eggwanga lyammwe okuba kabaka wammwe. Temugezanga ne mweteerawo omugwira, atali wa ggwanga lyammwe okubafuga.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

15 mussangawo omu ku baganda bammwe, Mukama gw'alyeroboza okuba kabaka okubafuga; si kirungi mmwe okussaawo mu nnaggwanga okubafuga.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

15 Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

15 tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katonda wo gw'alyeroboza: omu ku baganda bo gw'olissaawo okuba kabaka okukufuga: si kirungi ggwe okussaawo munnaggwanga okukufuga, atali muganda wo.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

15 wekkaanye, oyo yekka Omukama Katonda wo gw'aliba akulondedde ng'amuggya mu baganda bo, gw'ofuulanga kabaka. Togezanga n'olonda omugwira, atali muganda wo, okuba kabaka wo.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

15 Mumalanga kukakasa nti muteekawo oyo Mukama gw'aliba yeerobozezza. Mussangawo omu ku b'eggwanga lyammwe okuba kabaka wammwe. Temugezanga ne mweteerawo omugwira, atali wa ggwanga lyammwe okubafuga.

See the chapter Copy




Et 17:15

Follow us:

Advertisements


Advertisements