Et 16:8 - Luganda Bible 20038 Mu nnaku omukaaga eziddirira, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza Mukama Katonda wammwe, era temuulukolerengako mirimu. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI8 Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya8 Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya8 Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimi gwonna. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU8 Okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse; ku lwomusanvu oyitanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa olw'Omukama Katonda wo; tokolanga mulimu. See the chapterLuganda DC Bible 20038 Mu nnaku omukaaga eziddirira, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza Mukama Katonda wammwe, era temuulukolerengako mirimu. See the chapter |