Et 15:19 - Luganda Bible 200319 “Ente zammwe, embuzi n'endiga zammwe ezisooka okuzaalibwa, munaazaawuliranga Mukama Katonda wammwe. Ente ezo ezisooka okuzaalibwa temuuzikozesenga mirimu, era embuzi n'endiga ezo ezisooka okuzaalibwa, temuuzisalengako byoya. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI19 “Ensolo zammwe ensajja ezisooka okuzaalibwa, ente, embuzi oba endiga, munaazaawulangamu nga za Mukama, temuzikozesanga mulimu gwonna, era n'embuzi oba endiga temuzisalangako byoya. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya19 Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya19 Ebibereberye byonna ebisajja ente zo n'embuzi zo bye zinaazaalanga onootukuzanga eri Mukama Katonda wo: tokozanga mulimu gwonna kibereberye kya nte yo, so tosalanga byoya bya kibereberye kya mbuzi zo. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU19 “Buli kiggulanda kyonna ekizaalibwa mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, kasita kiba kirume, okisingiranga Omukama Katonda wo. Ente esooka okuzaalibwa togikozesanga mirimu, n'endiga esooka okuzaalibwa togimwangako byoya. See the chapterLuganda DC Bible 200319 “Ente zammwe, embuzi n'endiga zammwe ezisooka okuzaalibwa, munaazaawuliranga Mukama Katonda wammwe. Ente ezo ezisooka okuzaalibwa temuuzikozesenga mirimu, era embuzi n'endiga ezo ezisooka okuzaalibwa, temuuzisalengako byoya. See the chapter |