Et 14:29 - Luganda Bible 200329 Kale Abaleevi abatalina mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe gwe mulina, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe, banajjanga ne bafuna ku mmere eyo, ne balya ne bakkuta, Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga mmwe omukisa mu byonna bye munaakolanga. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI29 n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu nammwe, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abali munda mu bibuga byammwe, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wammwe alyoke abawe omukisa mu mirimu gyonna gye mukola. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya29 Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya29 n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe, ne munnaggwanga, ne mulekwa, ne namwandu abali munda w'enzigi zo, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mulinu gwonna ogw'omukono gwo gw'okola. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU29 bw'atyo Omuleevi atalina mugabo oba busika mu mmwe, n'omugwira, n'enfuuzi, ne nnamwandu, abali mu bibuga byo, nabo balye bakkute, Omukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mirimu gyonna egy'emikono gyo gy'okola. See the chapterLuganda DC Bible 200329 Kale Abaleevi abatalina mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe gwe mulina, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe, banajjanga ne bafuna ku mmere eyo, ne balya ne bakkuta, Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga mmwe omukisa mu byonna bye munaakolanga. See the chapter |