Et 13:6 - Luganda Bible 20036 “Ne muganda wo bwe muzaalibwa nnyammwe omu, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukyala wo gw'oyagala ennyo, oba mukwano gwo ennyo ayinza okukusendasenda mu kyama ng'agamba nti: ‘Tugende tusinze balubaale, ggwe ne bajjajjaabo be mutasinzangako.’ See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI6 “Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi wo, oba mukwano gwo ennyo, bw'akusendasendanga mu kyama, ng'ayogera nti, ‘tugende tuweereze bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe, newakubadde bajjajjaabo,’ See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya6 Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya6 Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi ow'omu kifuba kyo, oba mukwano gwo, aliŋŋanga obulamu bwo ggwe, bw'akusendasendanga ekyama ng'ayogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala, b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU6 Omulanzi oli, oba oyo omuloosi w'ebirooto, attibwanga, kubanga ayogera ebyo mujeemere Omukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu; akusendasenda kukuggya mu kkubo Omukama Katonda wo lye yakulagira. Ekibi kino mukiggyirangawo ddala mu mmwe. See the chapterLuganda DC Bible 20036 “Ne muganda wo bwe muzaalibwa nnyammwe omu, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukyala wo gw'oyagala ennyo, oba mukwano gwo ennyo ayinza okukusendasenda mu kyama ng'agamba nti: ‘Tugende tusinze balubaale, ggwe ne bajjajjaabo be mutasinzangako.’ See the chapter |