Online Bible

- Advertisements -




Et 13:17 - Luganda Bible 2003

17 Temwesigalizengawo kintu na kimu ku bikolimiddwa, olwo Mukama alyoke akomye obusungu bwe obungi. Alibakwatirwa ekisa, n'abasaasira n'abafuula bangi nga bwe yalayirira bajjajjammwe,

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

17 Temweterekerangako ku kintu kyonna ekikolimiddwa, Mukama alyoke akyuke okuleka obusungu bwe obungi, abalage ekisa, abasaasire era abaaze, nga bwe yalayirira bajjajjammwe.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

17 Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo,

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

17 So tewabanga ku kintu ekyakolimirwa ekineegattanga n'omukono gwo: Mukama akyuke okuleka obusungu bwe obukambwe, akulage ekisa, akusaasire, era akwaze, nga bwe yalayirira bajjajja bo;

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

17 Omunyago gwamu gwonna ogukuŋŋaanyizanga wakati mu mbuga y'ekibuga, awo ekibuga n'omunyago gwamwo n'obyokera wamu byonna n'omuliro ng'ekitambiro ekyokere Omukama Katonda wo. Ekibuga kya kusigala ntuumu ya mirembe gyonna era tekiriddamu kuzimbibwa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

17 Temwesigalizengawo kintu na kimu ku bikolimiddwa, olwo Mukama alyoke akomye obusungu bwe obungi. Alibakwatirwa ekisa, n'abasaasira n'abafuula bangi nga bwe yalayirira bajjajjammwe,

See the chapter Copy




Et 13:17

Follow us:

Advertisements


Advertisements