Online Bible

- Advertisements -

Et 13:16 - Luganda Bible 2003

16 Ebintu byonna eby'abantu baamu, mubikuŋŋaanyizanga mu luguudo mu makkati g'ekibuga ekyo. Ekibuga n'ebintu byonna ebikirimu mubyokyanga, ne biba ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe, ekyokebwa nga kiramba. Ekibuga ekyo kisigalanga matongo ennaku zonna ne kitaddamu kuzimbibwa.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

16 Era mukuŋŋaanyizanga wakati mu kibuga ebintu byonna eby'abantu ne mulyoka mu kyokya n'omuliro wamu n'ebintu by'abantu byonna; okuba nga ssaddaaka enjokye eri Mukama Katonda wammwe. Ekibuga ekyo kinaabeeranga matongo ennaku zonna.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

16 Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

16 Era onookuŋŋaanyanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu luguudo lwakyo, n'oyokya ekibuga omuliro, n'omunyago gwonna buli kantu konna, eri Mukama Katonda wo: era kinaabanga kifunvu ennaku zonna; tekirizimbibwa nate.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

16 ab'omu kibuga ekyo bonna obattanga bussi n'ekitala, n'okizikiriza, buli kirimu, abantu n'ebisolo byabwe.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

16 Ebintu byonna eby'abantu baamu, mubikuŋŋaanyizanga mu luguudo mu makkati g'ekibuga ekyo. Ekibuga n'ebintu byonna ebikirimu mubyokyanga, ne biba ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe, ekyokebwa nga kiramba. Ekibuga ekyo kisigalanga matongo ennaku zonna ne kitaddamu kuzimbibwa.

See the chapter Copy

Et 13:16

Follow us:

Advertisements

Advertisements