Online Bible

- Advertisements -




Et 12:7 - Luganda Bible 2003

7 Eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe gye munaaliiranga, ne musanyuka olw'ebyo byonna bye munaabanga mukoze, mmwe n'ab'omu maka gammwe, Mukama Katonda wammwe n'abibaweeramu omukisa.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

7 Era munaaliiranga mu kifo ekyo, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye mukoze n'emikono gyammwe, wamu n'ab'omu nnyumba zammwe, nga Mukama Katonda wammwe bw'abawadde omukisa.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

7 Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

7 era munaaliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye munassangako emikono gyammwe, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe, Mukama Katonda wo mwe yakuweera omukisa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

7 Eyo mu maaso g'Omukama Katonda wammwe, mmwe n'ab'omu maka gammwe bonna, gye muliiranga ne musanyukira mu byonna emikono gyammwe bye gikola, kubanga Omukama Katonda wammwe y'aliba abawadde omukisa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

7 Eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe gye munaaliiranga, ne musanyuka olw'ebyo byonna bye munaabanga mukoze, mmwe n'ab'omu maka gammwe, Mukama Katonda wammwe n'abibaweeramu omukisa.

See the chapter Copy




Et 12:7

Follow us:

Advertisements


Advertisements