Online Bible

- Advertisements -




Et 12:31 - Luganda Bible 2003

31 “Temuusinzenga Mukama Katonda wammwe nga bo bwe baasinzanga balubaale baabwe, kubanga bwe baabanga basinza balubaale baabwe, baakolanga buli kya muzizo, Mukama ky'akyawa. Baayokyanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro ne babafuula ebitambiro eri balubaale baabwe.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

31 Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe, nga mukola eby'omuzizo Mukama by'akyawa ebyakolebwanga ab'amawanga ago ne batuuka n'okuwaayo batabani baabwe ne bawala baabwe okubookya omuliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

31 Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

31 Tokolanga bw'otyo Mukama Katonda wo: kubanga buli kigambo Mukama ky'ayita eky'omuzizo ky'akyawa bali baakikolanga bakatonda baabwe: kubanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe baabookyanga omuliro eri bakatonda baabwe.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

31 Tosinzanga otyo Mukama Katonda wo; kubanga byonna ebyenyinyalwa bye bakola nga basinza balubaale baabwe Omukama abikyawa; batuuka n'okwokya mu muliro batabani baabwe ne bawala baabwe olwa balubaale baabwe.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

31 “Temuusinzenga Mukama Katonda wammwe nga bo bwe baasinzanga balubaale baabwe, kubanga bwe baabanga basinza balubaale baabwe, baakolanga buli kya muzizo, Mukama ky'akyawa. Baayokyanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro ne babafuula ebitambiro eri balubaale baabwe.

See the chapter Copy




Et 12:31

Follow us:

Advertisements


Advertisements