Et 12:28 - Luganda Bible 200328 Muwulirize bulungi ebigambo bino byonna bye mbalagira, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira emirembe gyonna, nga mukola ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nga birungi era nga bituufu. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI28 Mukwatenga ebyo byonna bye mbalagira, mulyoke mulabenga ebirungi, mmwe n'abaana bammwe, n'abazzukulu bammwe, emirembe gyonna, bwemunaakolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi era eby'ensonga.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya28 Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya28 Kwata owulirenga ebigambo ebyo byonna bye nkulagira, olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi era eky'ensonga. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU28 Ofangayo okutuusa ebigambo byonna bye nkulagira, olyoke obeerenga bulungi n'abaana bo abalikuddirira, kubanga oliba okoze ekirungi era ekituufu mu maaso g'Omukama Katonda wo. See the chapterLuganda DC Bible 200328 Muwulirize bulungi ebigambo bino byonna bye mbalagira, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira emirembe gyonna, nga mukola ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nga birungi era nga bituufu. See the chapter |