Online Bible

- Advertisements -




Et 12:15 - Luganda Bible 2003

15 “Naye munaayinzanga okuttira ebisolo n'okuliira ennyama wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, era nga Mukama bw'anaabanga abawadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okugiryako, nga bwe balya ku nnyama y'empeewo ne ku y'enjaza.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

15 Naye munaayinzanga okutta ebisolo ne muliira ennyama yaabyo wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, nga Mukama bw'anaabanga abawadde omukisa. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaagiryangako nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

15 Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli Mukama Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

15 Naye oyinza okutta ennyama n'okugirya munda w'enzigi zo zonna, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga, ng'omukisa gwa Mukama Katonda wo gwe yakuwa: abatali balongoofu n'abalongoofu bayinza okugiryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

15 “Bw'obanga oyagadde okuttayo ku nsolo zo olye, ottiranga wonna w'osanze, eyo mu bibuga byammwe, n'olya nga bw'oyagala, ng'omukisa gw'Omukama Katonda gw'akuwadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu bonna bayinza okulyanga, nga bw'olya ennangaazi oba engabi.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

15 “Naye munaayinzanga okuttira ebisolo n'okuliira ennyama wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, era nga Mukama bw'anaabanga abawadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okugiryako, nga bwe balya ku nnyama y'empeewo ne ku y'enjaza.

See the chapter Copy




Et 12:15

Follow us:

Advertisements


Advertisements