Et 12:12 - Luganda Bible 200312 Munaasanyukiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe mugabana. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI12 Munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna busika bwa ttaka nga mmwe. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya12 Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya12 era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'Omuleevi ali munda w'enzigi zammwe, kubanga talina mugabo newakubadde obusika wamu nammwe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU12 Eyo gye musanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe, bawala bammwe, abaddu n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, anti bo tebalina mugabo oba busika bye baafuna mu mmwe. See the chapterLuganda DC Bible 200312 Munaasanyukiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe mugabana. See the chapter |