Et 11:24 - Luganda Bible 200324 Buli kifo kye munaalinnyangamu ekigere, kinaabeeranga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Ewufuraate mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI24 Buli kifo kye munaalinnyangamu ebigere byammwe kinaabanga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Fulaati mu buvanjuba, okutuuka ku nnyanja Eyawakati mu bugwanjuba. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya24 Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya24 Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga, omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey'omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU24 Buli we mulirinnya ekigere walifuuka wammwe, okuva ku ddungu okutuuka e Lebanoni, okuva ku mugga Furaati okutuuka ku nnyanja ey'ebugwanjuba. See the chapterLuganda DC Bible 200324 Buli kifo kye munaalinnyangamu ekigere, kinaabeeranga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Ewufuraate mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba. See the chapter |