Online Bible

- Advertisements -




Et 11:22 - Luganda Bible 2003

22 “Munyiikirenga okukwata amateeka gano gonna ge mbateekera era mugatuukirizenga. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe. Mukolenga byonna by'abalagira era mumunywererengako.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

22 Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bino byonna bye mbalagira okukola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu biragiro bye byonna, n'okwegattanga naye;

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

22 Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako;

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

22 Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ekiragiro kino kyonna kye mbalagira, okukikola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okwegatta naye;

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

22 “Bwe muliba mukuumye ebiragiro bino byonna nze bye mbalagira ne mubituusa: okwagala Omukama Katonda wammwe, okutambulira mu makubo ge gonna n'okumunywererako,

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

22 “Munyiikirenga okukwata amateeka gano gonna ge mbateekera era mugatuukirizenga. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe. Mukolenga byonna by'abalagira era mumunywererengako.

See the chapter Copy




Et 11:22

Follow us:

Advertisements


Advertisements