Online Bible

- Advertisements -




Et 10:12 - Luganda Bible 2003

12 “Kale kaakano Abayisirayeli, Mukama Katonda wammwe ky'abaagaza, kye kino: Mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa. Mukwatenga empisa ennungi z'abalagira. Mumwagalenga era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna,

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

12 “Kale kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wammwe byayagala mukole bye bino: Mutyenga Mukama Katonda wammwe, mutambulirenga mu biragiro bye byonna, mumwagalenga, era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

12 Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna,

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

12 Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okumwagala, n'okuweereza Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna,

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

12 “Kale nno, Yisirayeli, Omukama Katonda wo akusaba ki? Si kirala, wabula okumutya oyo Omukama Katonda wo, okutambulira mu makubo ge gonna, okumwagala, okumuweereza oyo Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna,

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

12 “Kale kaakano Abayisirayeli, Mukama Katonda wammwe ky'abaagaza, kye kino: Mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa. Mukwatenga empisa ennungi z'abalagira. Mumwagalenga era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna,

See the chapter Copy




Et 10:12

Follow us:

Advertisements


Advertisements