Online Bible

- Advertisements -




Et 1:41 - Luganda Bible 2003

41 “Ne munziramu nti: ‘Twakola ekibi ne tunyiiza Mukama. Naye kaakano ka tugende, tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli omu ku mmwe n'ayambalira ebyokulwanyisa bye, nga mulowooza nti kyangu okulumba ensi ey'ensozi.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

41 “Naye ne muddamu ne muŋŋamba nti, ‘Tusobezza Mukama; ka twambuke tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli muntu n'akwata eby'okulwanyisa bye, ne mwambuka nga mulowooza nti kyangu okulwanira mu nsi ey'ensozi.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

41 Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

41 Ne mulyoka muddamu ne muŋŋamba nti Tusobezza ku Mukama; tunaayambuka ne tulwana, nga byonna bwe biri Mukama Katonda waffe bye yatulagira. Ne mwesiba buli muntu ebibye ebyokulwanyisa, ne mwanguwa okulinnya ku lusozi.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

41 “Mwayanukula nti: ‘Twonoonye ew'Omukama; tujja kwambuka, tulwane, ng'Omukama Katonda waffe bw'atulagidde.’ Buli omu yeesiba ebyokulwanyisa bye nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsozi.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

41 “Ne munziramu nti: ‘Twakola ekibi ne tunyiiza Mukama. Naye kaakano ka tugende, tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli omu ku mmwe n'ayambalira ebyokulwanyisa bye, nga mulowooza nti kyangu okulumba ensi ey'ensozi.

See the chapter Copy




Et 1:41

Follow us:

Advertisements


Advertisements