Online Bible

- Advertisements -




Et 1:31 - Luganda Bible 2003

31 ne mu ddungu. Mu lugendo lwonna lwe mwatambula nga muli eyo mu ddungu okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omuntu bw'asitula omwana we.’

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

31 era ne mu ddungu mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe yabatuusa mu kifo kino.’

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

31 Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

31 ne mu ddungu, mwe walabira Mukama Katonda wo bwe yakusitula ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

31 Era ne mu ddungu naawe wennyini walaba Omukama Katonda wo bwe yakuyisa mu ddungu, ng'akusitudde ng'omuzadde omusajja bw'asitula omwana we, eyo yonna mu kkubo gye wayita, okutuusa lwe muzze mu kifo kino.’

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

31 ne mu ddungu. Mu lugendo lwonna lwe mwatambula nga muli eyo mu ddungu okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omuntu bw'asitula omwana we.’

See the chapter Copy




Et 1:31

Follow us:

Advertisements


Advertisements