Et 1:28 - Luganda Bible 200328 Tulaga wa eyo? Bannaffe batumazeemu amaanyi nga bagamba nti abantu abaliyo banene era bawanvu okutusinga. Ebibuga binene. Byazimbibwako ebigo ebigulumivu okutuuka ku ggulu, era nti baalabayo n'abaana ba Anaki!’ See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI28 Twambuka wa? Baganda baffe batumazeemu amaanyi era batutiisizza,’ nga boogera nti, ‘abantu baayo banene, bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo; era twalabayo abaana ba Abanaki.’ ” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya28 Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki nabo twabalabayo.’ ” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya28 Twambuka wa? baganda baffe batusaanuusizza emitima gyaffe, nga boogera nti Abantu banene bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu; era twalabayo abaana ba Abanaki. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU28 Tulage wa? Baganda baffe batutekemudde emitima bwe bagambye nti: “Abantu bali bawagguufu, bawanvu okutusinga; ebibuga binene, bbugwe abyetoolodde akoma ku ggulu; twalabyeyo n'Abaanaki.” ’ See the chapterLuganda DC Bible 200328 Tulaga wa eyo? Bannaffe batumazeemu amaanyi nga bagamba nti abantu abaliyo banene era bawanvu okutusinga. Ebibuga binene. Byazimbibwako ebigo ebigulumivu okutuuka ku ggulu, era nti baalabayo n'abaana ba Anaki!’ See the chapter |