Et 1:22 - Luganda Bible 200322 “Mwenna ne mujja gye ndi ne muŋŋamba nti: ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’ See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI22 “Mwenna ne mujja gye ndi ne mwogera nti, ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo nga bwe biri.’ ” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya22 Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya22 Ne munsemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanaatukulembera, batukeberere ensi, bakomewo batubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n'ebibuga bwe biri mwe tulituuka. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU22 Mmwe mwenna mwansemberera ne muŋŋamba nti: ‘Tutume abasajja basookeyo gye tugenda, bekkaanye ensi, bajje batubuulire entambula bw'eneeba, batubuulire n'ebifa ku bibuga gye tugenda.’ See the chapterLuganda DC Bible 200322 “Mwenna ne mujja gye ndi ne muŋŋamba nti: ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’ See the chapter |