Online Bible

- Advertisements -




Et 1:21 - Luganda Bible 2003

21 Eyo ye nsi Mukama Katonda wammwe gy'abalaze. Mwambuke, mugyefuge, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabagamba. Temutya era temutekemuka’.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

21 Laba, Mukama Katonda wo atadde ensi mu maaso go; yambuka ogitwale ogituulemu nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba; totya so tokankana.’ ”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

21 Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

21 Laba, Mukama Katonda wo atadde ensi mu maaso go: yambuka olye nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakugamba; totya so tokankana.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

21 Kati ensi yiiyo Omukama Katonda wo gy'akuwadde; yambuka, ogitwale ng'Omukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, totekemuka.’

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

21 Eyo ye nsi Mukama Katonda wammwe gy'abalaze. Mwambuke, mugyefuge, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabagamba. Temutya era temutekemuka’.

See the chapter Copy




Et 1:21

Follow us:

Advertisements


Advertisements