Et 1:17 - Luganda Bible 200317 Temubeeranga na kyekubiira mu nsala yammwe. Muwulirizenga kyenkanyi abato n'abakulu. Temubangako muntu n'omu gwe mutiisa maaso, kubanga emisango mugisala mu buyinza bwa Katonda. Era ensonga eneebanga ebalemye, mugireetanga gye ndi, ne ngiwulira.’ See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI17 Bwe munaasalanga emisango, temusalirizanga, munaawuliranga abato n'abakulu kyenkanyi; temutyanga maaso ga muntu, kubanga omusango gwa Katonda; era ensonga eneebalemanga mugireetenga gye ndi, nange nnaagiwuliranga.’ See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya17 Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’ See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya17 Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n'abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda: era ensonga eneebalemanga mugireetanga gye ndi, nange naagiwuliranga. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU17 Temwekubiiranga nga mulamula; omutene mumuwulirizanga kye kimu n'omunene. Temutyanga muntu n'omu, kubanga alamula ye Katonda. Ensonga ebazibuwalidde, mugindeeteranga, ŋŋenda kugiwulira.’ See the chapterLuganda DC Bible 200317 Temubeeranga na kyekubiira mu nsala yammwe. Muwulirizenga kyenkanyi abato n'abakulu. Temubangako muntu n'omu gwe mutiisa maaso, kubanga emisango mugisala mu buyinza bwa Katonda. Era ensonga eneebanga ebalemye, mugireetanga gye ndi, ne ngiwulira.’ See the chapter |