Online Bible

- Advertisements -




Et 1:16 - Luganda Bible 2003

16 “Era mu kiseera ekyo, ne nkuutira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulirizenga ensonga za baganda bammwe, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyammwe, era n'egyo egizingiramu abagwira ababeera mu mmwe.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

16 “Era n'akuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti, ‘Muwulirizenga ensonga, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyonna, era n'egyo egya bannamawanga ababeera mu mmwe.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

16 Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

16 Era nakuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy'ensonga omuntu ne muganda we ne munnaggwanga ali awamu naye.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

16 Mu budde obwo nalagira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulire ensonga za baganda bammwe, mubalamule mu bwenkanya, ensonga ne bwe ziba wakati w'abooluganda, oba owooluganda n'omugwira.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

16 “Era mu kiseera ekyo, ne nkuutira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulirizenga ensonga za baganda bammwe, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyammwe, era n'egyo egizingiramu abagwira ababeera mu mmwe.

See the chapter Copy




Et 1:16

Follow us:

Advertisements


Advertisements