Eseza 2:3 - Luganda Bible 20033 Tuma abaami bo mu bitundu byonna eby'omu bwakabaka bwo, bakuŋŋaanyize abawala bonna abato abalungi era embeerera, mu nnyumba yo ey'abakazi mu kibuga ekikulu Susa, bakwasibwe omulaawe wo Hegayi, alabirira abazaana, era bafumbirirwe bulungi. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 Era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, bakwasibwe Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okwerongoosa bibaweebwe. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okulongoosa babiweebwe: See the chapterLuganda DC Bible 20033 Tuma abaami bo mu bitundu byonna eby'omu bwakabaka bwo, bakuŋŋaanyize abawala bonna abato abalungi era embeerera, mu nnyumba yo ey'abakazi mu kibuga ekikulu Susa, bakwasibwe omulaawe wo Hegayi, alabirira abazaana, era bafumbirirwe bulungi. See the chapter |