Online Bible

- Advertisements -

Danyeri 3:7 - Luganda Bible 2003

7 Awo abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka kye yateekawo.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

7 Awo abantu bonna, n'abamawanga bonna, n'ab'ennimi zonna, bwe baawulira eddoboozi ly'engombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ery'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

7 Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, amawanga gonna n’ensi n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

7 Awo abantu bonna bwe baawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, na buli ngeri yonna evuga, abantu bonna amawanga, n'ennimi, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

7 Awo abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka kye yateekawo.

See the chapter Copy

Danyeri 3:7

Follow us:

Advertisements

Advertisements