Danyeri 3:27 - Luganda Bible 200327 Ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abakungu ba kabaka abalala bonna, ne bakuŋŋaana, ne balaba abasajja abo, omuliro be gutaakolako kabi. Enviiri zaabwe tezaayokebwako, engoye zaabwe tezaggya, era nga tebawunya bbabe lya muliro. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI27 Abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, n'abawi ba magezi, bonna ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziyidde era nga n'olusu lw'omuliro terubawunyako. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya27 Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya27 N'abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziwaanyisibbwa, so n'olusu lw'omuliro nga terubabaddeeko. See the chapterLuganda DC Bible 200327 Ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abakungu ba kabaka abalala bonna, ne bakuŋŋaana, ne balaba abasajja abo, omuliro be gutaakolako kabi. Enviiri zaabwe tezaayokebwako, engoye zaabwe tezaggya, era nga tebawunya bbabe lya muliro. See the chapter |