Danyeri 3:2 - Luganda Bible 20032 Awo Nebukadunezzari kabaka n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi b'amagezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna aba buli kitundu, babeerewo mu kuwonga ekifaananyi ekyo, Kabaka Nebukadunezzari kye yateekawo. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI2 Awo kabaka Nebukadduneeza n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, abalamuzi, abawanika, abawi ba magezi, bannamateeka, n'abakulu bonna abo mu masaza, bajje babeerewo nga ekifaananyi kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza kiwongebwa. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya2 N’atumya abaamasaza, n’abaamagombolola, n’abemiruka, n’abawi b’amagezi, n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, bajje ku mukolo ogw’okuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya2 Awo Nebukadduneeza kabaka n'atuma okukuŋŋaanya abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abakungu, n'ab'amateeka, n'abakulu bonna ab'omu masaza, bajje eri ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza bwe kiriwongebwa. See the chapterLuganda DC Bible 20032 Awo Nebukadunezzari kabaka n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi b'amagezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna aba buli kitundu, babeerewo mu kuwonga ekifaananyi ekyo, Kabaka Nebukadunezzari kye yateekawo. See the chapter |