Danyeri 2:6 - Luganda Bible 20036 Naye bwe munambuulira kye naloose, era n'amakulu gaakyo, nja kubawa ebirabo n'empeera, era mbafuule baakitiibwa nnyo. Kale mumbuulire kye naloose, era n'amakulu gaakyo.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI6 Naye bwe munaantegeeza ekirooto n'amakulu gaakyo, nnaabawa birabo n'empeera n'ekitiibwa ekinene. Kale muntegeeze kye nnaloota n'amakulu gaakyo.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya6 Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya6 Naye bwe munaalaga ekirooto n'amakulu gaakyo, munaaweebwa nze ebirabo n'empeera n'ekitiibwa kingi: kale mundage ekirooto n'amakulu gaakyo. See the chapterLuganda DC Bible 20036 Naye bwe munambuulira kye naloose, era n'amakulu gaakyo, nja kubawa ebirabo n'empeera, era mbafuule baakitiibwa nnyo. Kale mumbuulire kye naloose, era n'amakulu gaakyo.” See the chapter |