Online Bible

- Advertisements -

Danyeri 2:35 - Luganda Bible 2003

35 Olwo ekyuma, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu, ne bimementukira wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo na kalabika. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne libuna ensi yonna.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

35 Olwo ekyuma, n'ebbumba, n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo kantu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

35 Ekyuma n’ebbumba, n’ekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro mu biro eby’omusana omungi; kibuyaga n’abifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

35 Ekyuma, n'ebbumba, n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro ekyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala bwe zityo n'okulaba ne bitalaba bbanga: n'ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

35 Olwo ekyuma, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu, ne bimementukira wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo na kalabika. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne libuna ensi yonna.

See the chapter Copy

Danyeri 2:35

Follow us:

Advertisements

Advertisements