Online Bible

- Advertisements -

Danyeri 2:10 - Luganda Bible 2003

10 Abeetegereza eby'emmunyeenye ne baddiramu mu maaso ga kabaka nti: “Tewali muntu n'omu ku nsi ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Tewali kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, eyali abuuzizza omulaguzi, wadde omufuusa, newaakubadde oyo eyeetegereza eby'emmunyeenye, ekintu ekifaanana ng'ekyo.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

10 Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Ate era tewabangawo kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, yali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna, newakubadde omufumu yenna, newakubadde Omukaludaaya yenna.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

10 Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

10 Abakaludaaya ne baddiramu mu maaso ga kabaka, ne boogera nti Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okulaga ekigambo kya kabaka: kubanga tewali kabaka newakubadde omukungu newakubadde owessaza eyali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna newakubadde omufumu yenna newakubadde Omukaludaaya yenna.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

10 Abeetegereza eby'emmunyeenye ne baddiramu mu maaso ga kabaka nti: “Tewali muntu n'omu ku nsi ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Tewali kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, eyali abuuzizza omulaguzi, wadde omufuusa, newaakubadde oyo eyeetegereza eby'emmunyeenye, ekintu ekifaanana ng'ekyo.

See the chapter Copy

Danyeri 2:10

Follow us:

Advertisements

Advertisements