Online Bible

- Advertisements -




Abalam 9:15 - Luganda Bible 2003

15 Omweramannyo ne gugamba emiti nti: ‘Oba nga ddala mwagala okunfuula kabaka wammwe, kale mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye oba nga si ekyo, omuliro gunaava mu matabi gange ag'amaggwa, ne gumalawo emivule egy'oku Lebanooni.’

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

15 Omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Oba nga munanfukako amafuta okuba kabaka wammwe ddala, kale mujje mwewogome mukisiikirize kyange; naye oba nga si bwe kityo. Omuliro guve mu mweramannyo gwokye emivule gyonna egy'omu Lebanooni.’

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

15 Awo omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonda okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye bwe kitaba kityo, omuliro guve mu mweramannyo gusaanyeewo emivule gy’omu Lebanooni.’

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

15 Omweramannyo ne gugamba emiti nti Oba nga munfukako amafuta okuba kabaka mazima ddala, kale mujje mwesige ekisiikirize kyange: naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu mweramannyo gumalewo emivule egy'oku Lebanooni.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

15 Omukula ne guddamu emiti nti: ‘Oba mu mazima munansiiga omuzigo ne nfuuka kabaka wammwe, mujje mweggame mu kisiikirize kyange. Oba si ekyo, omuliro gujja kuva mu mukula guwemmente entolookyo za Lebanoni.’

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

15 Omweramannyo ne gugamba emiti nti: ‘Oba nga ddala mwagala okunfuula kabaka wammwe, kale mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye oba nga si ekyo, omuliro gunaava mu matabi gange ag'amaggwa, ne gumalawo emivule egy'oku Lebanooni.’

See the chapter Copy




Abalam 9:15

Follow us:

Advertisements


Advertisements