Abalam 8:26 - Luganda Bible 200326 Empeta ze yafuna ne zizitowa kilo kumpi makumi abiri, nga tobaliddeeko byakwewoomya ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi, era n'emikuufu egy'omu bulago, n'engoye eza kakobe bakabaka ba Midiyaani ze bambala, n'enjegere ezaali mu nsingo z'eŋŋamiya zaabwe. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI26 N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu (1,700) nga totaddeko majolebera n'ebyambalo eby'e fulungu bakabaka be Midiyaani bye baali bambadde ne mikuufu egyali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya26 Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya26 N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu; obutassaako myezi, na byakulengejja, na byambalo bya fulungu bakabaka ba Midiyaani bye baali bambadde, era obutassaako mikuufu egyali mu nsingo z'eŋŋamira zaabwe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU26 Empeta ze yasaba ne ziweza sekeli eza zaabu lukumi mu lusanvu, nga togasseeko bulege obuweese ng'omwezi, n'empeta ez'oku matu, n'eminagiro gya bakabaka b'e Midiyaani gye bambala, era nga tobaliddeeko mikuufu egy'omu bulago bw'eŋŋamiya. See the chapterLuganda DC Bible 200326 Empeta ze yafuna ne zizitowa kilo kumpi makumi abiri, nga tobaliddeeko byakwewoomya ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi, era n'emikuufu egy'omu bulago, n'engoye eza kakobe bakabaka ba Midiyaani ze bambala, n'enjegere ezaali mu nsingo z'eŋŋamiya zaabwe. See the chapter |