Abalam 8:21 - Luganda Bible 200321 Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidiyoni nti: “Ggwe oba otutta! Ekikolwa ng'ekyo kisobolwa musajja!” Gidiyoni n'asituka n'abatta. N'atwala eby'okwewoomya ebyali bitimbiddwa mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe, ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI21 Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidyoni nti, “Ggwe situka otutte, kubanga ekikolwa ng'ekyo kikolwa omusajja muzira nga ggwe.” Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala amajolobera agaali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya21 Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya21 Zeba ne Zalumunna ne balyoka boogera nti Golokoka ggwe otugweko: kubanga omusajja nga bw'ali, n'amaanyi ge bwe gali bwe gatyo. Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala emyezi egyali ku nsingo z'eŋŋamira zaabwe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU21 Zeba ne Zalumunna ne bamugamba nti: “Jjangu, ggwe otwettire wennyini, anti ng'omusajja bw'ali, n'amaanyi ge.” Gidewoni n'asituka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala n'obulege obuweese ng'omwezi obwalinga mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe. See the chapterLuganda DC Bible 200321 Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidiyoni nti: “Ggwe oba otutta! Ekikolwa ng'ekyo kisobolwa musajja!” Gidiyoni n'asituka n'abatta. N'atwala eby'okwewoomya ebyali bitimbiddwa mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe, ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi. See the chapter |